Ezekiel 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndimutaayiza n'ekitimba kyange, era alikwatibwa mu mutego gwange; ndimutwala e Babiloni, mu nsi y'Abakaludeya; nayo yennyini taligiraba; eyo gy'alifiira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndimusuulako ekitimba kyange, era ndimukwatira mu mutego gwange; ndimutwala e Babbulooni mu nsi ey'Abakaludaaya, naye taligiraba era eyo gy'alifiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange. Ndimutwala e Babilooni, mu nsi y'Abakaludaaya, gy'alifiira nga talabye kibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimusuulako ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikiraba, newakubadde ng'alifiira eyo.