Ezekiel 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na bonna abamubugiriza: abagabe be n'eggye lye, ŋŋenda kubasaasaanya mu buli nsonda; ndibawondera n'ekitala ekisowole.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era nditeekawo abantu abalibawondera okubatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisaasaanyiza buli ludda abo bonna abamwetoolodde okumuyamba, n'abagoberezi be bonna, era nditeekawo abantu ababawondera okubatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era ndisowola ekitala ekiribagoberera.