Ezekiel 12:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu bo nditalizaamu abatono ekitala, enjala ne kawumpuli, balyoke babuulire mu mawanga gye baagenda ebyenyinyalwa bye baakola, n'abo bamanye nga nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ndirekawo ku bo batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke bejjuse nga bali eyo mu mawanga eby'emizizo byonna bye baakola. Kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndirekawo abamu ku bo abatonotono, abaliwona okuttibwa mu lutalo, n'okuttibwa enjala, n'endwadde, balyoke bategeere, nga bali eyo mu mawanga, nga bye baakola byali byenyinyalwa, era bamanye nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ndirekawo ku bo abasajja batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke babuulirenga emizizo gyabwe gyonna mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga nze Mukama.