Ezekiel 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba ku abo abasula mu Yeruzaalemu ne mu nsi ya Yisirayeli: Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirivu, n'amazzi gaabwe baliganywera mu kutya, kubanga ensi yaabwe egenda kuggyibwako kyonna ky'erina, olw'ebikolobero by'abo bonna abagisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga abo bonna abatuulamu bakoze ebitasaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogambe abantu ab'omu nsi eno nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba abo abali mu Yerusaalemu, mu nsi ya Yisirayeli nti balirya emmere nga beeraliikirira, era balinywa amazzi nga bali mu kutya. Ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga bonna abagibeeramu bakoze ebitasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekebwewo byonna ebirimu olw'ekyejo ky'abo bonna abatuulamu.