Ezekiel 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, osula mu nnyumba enjeemu, abalina amaaso ag'okulaba naye abatalaba, n'amatu ag'okuwulira naye abatawulira, kubanga bo nnyumba njeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba y'abantu abajeemu, abalina amaaso ag'okulaba naye tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira naye tebawulira; kubanga bantu bajeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso, naye tebalaba. Balina amatu naye tebawulira, kubanga bajeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba eyo enjeemu abalina amaaso ag'okulaba so tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nnyumba njeemu.