Ezekiel 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga kati omuli abantu birirekebwa ttayo, n'ensi erifuuka matongo; olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga kati ebirimu abantu birizikirizibwa, ensi erifuuka matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebibuga ebirimu abantu kaakano birizikirizibwa, ensi n'efuulibwa amatongo. Olwo balimanya nga Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga ebibeerwamu birizisibwa, n'ensi eriba matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.