Ezekiel 12:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, lugero ki olwo lwe mugera mu nsi ya Yisirayeli nti: ‘Ennaku zo zeeyerawo, naye buli kulabikirwa temuva kantu’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti, ‘Ennaku ziggwaayo era teri kwolesebwa kutuukirira?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Yisirayeli lwe mugera nti: ‘Ebiseera biyita, naye ebiragibwa mu kulabikirwa ne bitatuukirira.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti Ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula?