Ezekiel 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Olwo olugero nzija kulusirissa, teruddemu kugerebwa mu Yisirayeli.’ Bagambe nti: ‘Ennaku zisembedde buli kulabikirwa lwe kulituukirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikomya olugero olwo, so tebaliddayo kulukozesa mu Isiraeri,’ naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, buli kwolesebwa kwonna lwe kulituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ndikomya olugero olwo. Tebaliddayo kulukozesa mu Yisirayeli. Naye bagambe nti: ‘Ennaku zinaatera okutuuka, ekyalagibwa mu kulabikirwa kituukirizibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikomya olugero olwo, so tebalirugera nate mu Isiraeri okuba olugero; naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, n'okutuukiriza buli kwolesebwa.