Ezekiel 12:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze Omukama ndyogeranga ekigambo kye ndiba njogedde, era kirituukiriranga; kubanga mu budde bwammwe, mmwe nnyumba enjeemu, ndyogeranga ekigambo ne nkituukiriza, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ayi ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, nze nnaayogeranga, era kye ŋŋamba, kinaatuukirizibwanga. Wanaabanga tewakyaliwo kulwa, naye mu kiseera kyammwe, bajeemu mmwe, kye njogera ndikituukiriza.’ Bwe ntyo bwe ŋŋambye, Nze Mukama Afugabyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ai ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.