Ezekiel 12:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli yiino bagamba nti: ‘Ono by'alabikirwa bya nnaku nnyingi mu maaso; alanga bya budde obukyali ewala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti,‘ Okwolesebwa kwalaba kwamu nnaku nnyingi ez'omu maaso, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, laba, ab'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti by'olaba mu kulabikirwa si bya kutuukirira mu nnaku zino, era ne by'olanga bya mu biseera ebikyali ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.