Ezekiel 12:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Tewali bigambo byange bijja kulwanga; buli kye nnaayogeranga kijjanga kutuukirizibwanga, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Mu bye njogedde, tewali kinaayongera kulwawo, naye buli kye njogera, kijja kutuukirira. Bwe ntyo, Nze Mukama, Katonda, bwe ŋŋambye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.