Ezekiel 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ggwe, mwana w'omuntu, siba engugu egenda mu buwaŋŋanguse; awo emisana nga balaba, situla ove mu kifo kyo olage awalala; mpozzi banaateegera, kubanga bo nnyumba njeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, ggwe omwana w'omuntu, teekateeka ebintu eby'obuwaŋŋanguse, osituke osenguke misana nga bonna balaba; osenguke okuva mu kifo kyo odde mu kifo ekirala bonna nga balaba: oboolyawo banaategeera newakubadde nga nnyumba njeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, ggwe omuntu, siba omugugu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo gwe yandisibye, osituke osenguke misana ng'abantu balaba. Osenguke mu kifo kyo, odde mu kifo ekirala, nga balaba. Oboolyawo banaabaako kye balabukamu, newaakubadde nga bajeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ggwe omwana w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋŋanguse, ositule okusenguka misana bo nga balaba; era olisenguka mu kifo kyo n'odda mu kifo ekirala bo nga balaba: mpozzi balirowooza, newakubadde nga nnyumba njeemu.