Ezekiel 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Engugu yo gye wasibidde obuwaŋŋanguse ojja kugifulumya misana nga balaba; ate era akawungeezi nga balaba ogende ng'abo abagenda mu buwaŋŋanguse bwe bakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoofulumya ebintu byo eby'obuwaŋŋanguse misana bonna nga balaba, ositule oveeyo kawungeezi bonna nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era emisana nga balaba, siba ebintu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo, ositule oveeyo akawungeezi nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliggyamu ebintu misana bo nga balaba, ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse: era olivaamu wekka akawungeezi bo nga balaba, ng'abantu bwe bavaamu abagobebwa ewaabwe.