Ezekiel 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gyetikke ku kibegabega nga balaba ogifulumye nga bukutte. Weebikke mu maaso oleme kulaba nsi, kubanga ggwe nkutaddewo ng'akabonero eri ennyumba ya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bisitulire ku kibegabega kyo bonna nga balaba, obifulumye nga ekizikiza kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bisitulire ku kibegabega kyo nga bakulaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte era nga weebisse ku maaso, nga tolaba gy'olaga, kubanga nkutaddewo obe akabonero akalabula Abayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bisitulire ku kibegabega kyo bo nga balaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.