Ezekiel 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nkola nga Omukama bwe yandagira: emisana ne nfulumya engugu gye nali nsibidde obuwaŋŋanguse, ate akawungeezi ne nsima n'emikono ekituli mu kisenge, ate nga bukutte ne ngifulumya nga ngyetisse ku kibegabega nga bonna balaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: Emisana n'aggyamu ebintu byange eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekituli mu kisenge, ne mbiggyamu nga ekizikiza kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bonna nga balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nkola nga Mukama bwe yandagira. Ku olwo, naggyamu ebintu byange, ne nsiba omugugu ng'omuntu agenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ako, nze nzennyini ne nkuba ekituli mu kisenge, ne nfulumya ebintu byange ng'obudde bukwata, ne mbisitulira ku kibegabega kyange ng'abantu balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: naggyamu ebintu byange emisana ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ne mbiggyamu ekizikiza nga kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bo nga balaba.