Ezekiel 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga baalimba abantu bange nga bagamba nti “Ddembe,” sso ng'eddembe teryaliyo, era kubanga abantu bwe baazimba ekisenge, bo ne bakimaalako ennoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima bannabbi abo bawubisizza abantu bange, nga boogera nti, ‘Mirembe;’ so nga tewali mirembe. Abantu bwe bazimba ekisenge ekitagumye, bannabbi abo bakisiigako langi kinyirire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi abo, mazima bawubisizza abantu bange, nga bagamba nti: ‘Mirembe’, sso nga tewali mirembe. Abantu bwe bazimba ekisenge ekitagumye, abalanzi abo ne bakisiigako langi kinyirire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, laba, bakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi: