Ezekiel 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gamba abo abakimaalako ennoni nti: “Kya kugwa; enkuba nnamuttikwa eritonnya, ndiwanula amayinja g'omuzira ne gagwa, n'omuyaga ogw'amaanyi gulikunta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe abo abakisiigako langi nti kijja kugwa, wajja kutonnya enkuba ey'amaanyi, wagwe n'amayinja ag'omuzira amanene, wakunte ne kibuyaga omungi kibuyaga omungi alikimenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abakisiigako langi, bagambe nti kijja kugwa. Wajja kutonnya enkuba ey'amaanyi, wagwe n'amayinja ag'omuzira amanene, wakunte ne kibuyaga omungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bagambe abo abakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi nga kirigwa: walibaawo enkuba ekulukuta ennyo; nammwe, amayinja ag'omuzira amanene, muligwa; ne kibuyaga omungi alikimenya.