Ezekiel 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumenya ekisenge kwe mwamaala ennoni, nkituusize ddala ku ttaka, n'omusingi gwakyo gulabike; mulitokomokera omwo; olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako langi ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo bwe ndimenyerawo ddala ekisenge kye musiizeeko langi, ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde mu bbanga. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Olwo buli muntu alimanya nga nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama: