Ezekiel 13:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwange nzija kubumalira ku kisenge ne ku abo abaakimaala ennoni, ndibagamba mmwe nti: “Ekisenge tewakyali era n'abo abaakimaala ennoni tebakyaliwo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako langi, era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako langi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo bwe ndimalira obusungu bwange ku kisenge ekyo, ne ku abo abaakisiiga langi, era ndibagamba mmwe nti: ‘Ekisenge tekikyaliwo era n'abo abaakisiiga langi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako;