Ezekiel 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abo abalanzi ba Yisirayeli abaalanga eri Yeruzaalemu, abaafuna ku lulwe okulabikirwa okw'eddembe sso nga tewaali ddembe.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
be bannabbi ba Isiraeri abaalanga ebifa ku Yerusaalemi, nga bagamba nti baafuna okwolesebwa nga kinaaba mirembe, so nga tewali mirembe,” bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
be balanzi ba Yisirayeli abaalanga ebifa ku Yerusaalemu, nga bwe bafunye okulabikirwa nti kinaaba mirembe nga sso tewali mirembe.’ Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw'emirembe, so nga tewali mirembe, bw'ayogera Mukama Katonda.