Ezekiel 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: Omukama Katonda kino ky'agamba: ‘Zibasanze abakazi abo abatunga enzinga mu biseke byabwe, abakolera emitwe gyabwe ebitambaala ebya buli buwanvu okukwasa abantu! Mugamba munaakwasa emyoyo gy'abantu bange egyammwe ne mugireka nga miramu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Zibasanze abakazi abakola ebikomo eby'obulogo ebyo ku mikono n'eby'okwebikirira eby'o ku mutwe, basobole okufuga obulamu bwabwe. Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogambe nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Zibasanze mmwe abakazi abatungira buli muntu ensiriba ez'okwesiba ku mikono, era abakolera abantu aba buli ngeri ebiwero eby'amalogo okwetimba ku mitwe, basobole okufuga obulamu bw'abalala. Mwagala okuba n'obuyinza okukola kye mwagala ku bulamu bw'abantu bange, mmwe mwewonye okufa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abakazi abatungira ebigugu ku nkokola zonna, era abakolera ebiwero emitwe gy'abantu aba buli kigera okuyigga obulamu Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa?