Ezekiel 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumpeebudde mu bantu bange olw'olubatu lwa sayiri n'olw'obukunkumuka bw'omugaati; musse abantu abatandifudde ne muwonya abandifudde bwe mulimba abantu bange abakkiriza eby'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mummalamu ekitiibwa mu maaso g'abantu, nga munoonya okwefunira embatu za bbaale n'ebitundu by'emigaati, nga mutta abantu abatagwanira kufa, ne muwonya abo abatagwanira kuba balamu, ne mulimba abantu bange abawuliriza eby'obulimba.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba.