Ezekiel 13:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno, Omukama Katonda kino ky'agamba: saagala nzinga ezo ze mweyamba okukwasa abantu ng'abatega ennyonyi, nzija kuzikutula ku mikono gyammwe; abantu be mukwasa ku mutego ng'ennyonyi nzija kubata beetaaye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndi mulabe w'eby'obulogo byammwe bye mukozesa ku bulamu bw'abantu; ndibizikiriza, ne mbibaggyako bye mubadde mukozesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndi mulabe wa nsiriba ezo ze mukozesa okutawaanya obulamu bw'abantu, era n'okutta, era ndizisika ne nziggya ku mikono gyammwe, ne nta abo be mubadde mutigomya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa bigugu byammwe bye muyizza obulamu eyo okububuusa, era ndibisika okubiggya ku mikono gyammwe; era nditta obulamu, obulamu obwo bwe muyigga okububuusa.