Ezekiel 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubayuzaako ebitambaala ku mitwe abantu bange mbanunule mu mikono gyammwe; tebaliddayo kubeera munyago gwa buyinza bwammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'eby'okwebikirira byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebiwero byammwe ebyo eby'amalogo ndibiyuza, ne nzigya abantu bange mu mikono gyammwe, ne bawona okuyiggibwa. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.