Ezekiel 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mwaterebula n'obulimba bwammwe emitima gy'abatuukirivu, nze be nali sinakuwazizza, era kubanga mwawa ababi amaanyi baleme kuva mu makubo gaabwe amabi bawonye batyo obulamu bwabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga muwuubaazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mu bulimba bwammwe, munakuwaza abantu abalungi, nze be saagadde kunakuwaza, ne munyweza ababi baleme kukyuka okuva mu bibi byabwe, bawonye obulamu bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga muwuubazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu: