Ezekiel 13:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno temukyaddayo kulabikirwa bya sswakaba na kulagula; abantu bange nzija kubanunula mu mikono gyammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyemuliva mulema okuddayo okulaba nate okwolesebwa okutaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano okulabikirwa kwammwe okutaliiwo, n'okulanga kwammwe okw'okubuzaabuza, biweddewo. Nja kuwonya abantu bange mbaggye mu buyinza bwammwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyemuliva mulema okulaba nate ebitaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.