Ezekiel 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye balabikirwa bya sswakaba ne bye balagula bya bulimba. Bagamba nti “Omukama agamba,” sso ng'Omukama tabatumanga; ne balowooza nti anaatuukiriza bye boogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bolesebwa ebitaliyo, boogera eby'obulimba nga bagamba nti, ‘Mukama ayogedde,’ so nga Nze Mukama sibatumye, era basuubizizza abantu nti bye boogedde bijja kutuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulabikirwa kwabwe tekuliiwo, era balanga bya bulimba abo abagamba nti boogera bubaka bwange, Nze Mukama, sso nga nze sibatumye, ne basuubiza abantu nti kye boogedde kijja kutuukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw'obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng'ekigambo kigenda kunywezebwa.