Ezekiel 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye mwalabikirwa tebyali bya sswakaba ne bye mwalagula tebyali bya bulimba bwe mwagamba nti: “Omukama y'agamba,” sso nga nze soogeranga?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “ Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temulabye kwolesebwa okutaliyo era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti, ‘Mukama yayogedde,’ newakubadde nga mba soogedde?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo mbagamba nti: ‘Tewali kulabikirwa kwe mufunye, ne bye mwogedde bya bulanzi bwa bulimba. Mugamba nti ebyo nze mbyogedde, sso nga sibyogeranga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temulabye kwolesebwa okutaliimu, era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti Mukama ayogera: era naye soogeranga?