Ezekiel 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Olw'okubeera ebigambo byammwe ebya sswakaba n'okulagula kwammwe okw'obulimba, mbali bukiika, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kaakano ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nga bwe mwogedde ebitaliiwo, era nga bwe mulabye eby'obulimba, kaakano ndi mulabe wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kale, laba, ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.