Ezekiel 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwange gujja kubeera ku balanzi abalabikirwa ebya sswakaba, ne balagula eby'obulimba; tebalibeera mu lukiiko lwa bantu bange, ne mu kitabo ky'ennyumba ya Yisirayeli tebaliwandiikibwamu, ne mu nsi ya Yisirayeli tebaliyingirayo; olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nja kubonereza bannabbi abalaba ebitaliyo ne balagula eby'obulimba: tebalituula mu kibiina ky'abantu bange abakuŋŋaana okuteesa mu abo abateesa, era tebaliwandiikibwa mu kiwandiiko ky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri. Kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kubonereza abalanzi abo abalaba ebitaliiwo, era abalanga eby'obulimba. Tebaliba mu bantu bange nga bakuŋŋaanye okuteesa, amannya gaabwe tegaliwandiikibwa mu ga ba ggwanga lya Yisirayeli, era tebaliyingira mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama Afugabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukono gwange guliba nulabe wa bannabbi abalaba ebitaliimu ne balagula eby'obulimba: tebaliba mu abo abateesa ab'omu bantu bange, so tebaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.