Ezekiel 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ennyumba ya Yisirayeli teriddayo kunneeyawulako na kweyonoona na bisobyo byayo byonna, wabula balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo ndikikola, ab'eggwanga lya Yisirayeli baleme kuddamu kunvaako, n'okweyonoona nga bakola ebibi, naye babeerenga bantu bange, nze mbenga Katonda waabwe.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.