Ezekiel 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, singa ensi emu esobya gye ndi, n'eteeyisa mu bwesigwa, ndigigololerako omukono gwange ne ngikutulako ekigisakirira emmere, ndigisindikira enjala ne ngittamu abantu n'ensolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ne tebeera nneesigwa, nange ne ngigololerako omukono gwange ne ngima emmere gye yeetaaga, ne ngisindikira enjala, ne nengimalamu abantu era n'ensolo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, ensi bw'ekola ebibi n'ennyiiza, ndigolola omukono gwange ne ngibonereza, ne ngimma emmere gye yeetaaga. Ndigireetamu enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ng'esobezza, nange ne ngigololerako omukono gwange ne mmenya omuggo ogw'emigaati gyamu, ne ngiweerezaako enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo;