Ezekiel 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nsindikira ensi ebisolo ebikambwe ne bigimalamu abaana, n'efuuka matongo, nga tewakyali agiyitamu olw'ebisolo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Oba singa nsindika ensolo enkambwe mu nsi ne zigyonoona, n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa mpisa ensolo enkambwe mu nsi ne zigyonoona, n'efuuka ensiko nga tekyayinza kuyitibwamu bantu olw'okutya ensolo ezo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ndiyisa ensolo embi mu nsi n'okugyonoona ne zigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;