Ezekiel 14:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mazima nze nga ndi mulamu, Omukama y'agamba, ne bwe bandibadde mu nsi eyo, tebandisobodde kuwonya batabani baabwe na bawala baabwe, wabula bo bokka be bandiwonyeewo; ensi yo yandisigadde matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; wabula bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abasajja abo bonsatule ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandyewonyezza bokka, naye ensi n'ezika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.