Ezekiel 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mazima nze nga ndi mulamu, Omukama y'agamba, ne bwe mwandibaddemu abasajja abo abasatu, tebandiwonyezza batabani baabwe na bawala baabwe, wabula bo bokka be bandiwonyeewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ng’abasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini be bandiwonyeewo bokka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abasatu abo ne bwe bandibadde mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe, wabula bo bennyini be bandiwonyeewo bokka olw'obulungi bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini baliwonyezebwa bokka.