Ezekiel 14:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mazima nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, Nowa, Danyeli ne Yobu ne bwe bandibadde mu nsi eyo, tebandiwonyezzaawo n'omu ku batabani oba bawala baabwe, wabula bo, olw'obutuukirivu bwabwe, be bandiwonyezza obulamu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bandiwonyeza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa ne Daniyeli ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw'obulungi bwabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nuuwa ne Danyeri ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.