Ezekiel 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Kiriba kitya bwe ndisindikira Yeruzaalemu ebibonerezo byange ebina ddekabusa: ekitala, enjala, ebisolo ebikambwe ne kawumpuli, okutta abantu baamu n'ebisolo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala n’ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu n’ensolo zaabwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kale tekirisingawo okuba obubi, bwe ndisindika ebibonerezo byange ebizibu ebina ku Yerusaalemi: ekitala, enjala, ensolo enkambwe ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Kale tekirisingawo obubi bwe ndisindika ku Yerusaalemu ebibonerezo byange ebina ebisingayo obukambwe: olutalo, n'enjala, n'ensolo enkambwe ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo okuba bwe bityo, bwe ndiweereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?