Ezekiel 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mulibaamu abaliwonawo, okufulumya batabani ne bawala bammwe. Bwe balibaleeterwa, muliraba amakubo gaabwe n'ebikolwa byabwe. Mulikubagizibwa olw'akabi ke ndiba ndeetedde Yeruzaalemu, olw'ebyo byonna bye ndiba mmuleetedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye mulisigalamu abamu abaliwonawo, wamu n'abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Abo bwe balivaayo ne bajja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulitegeera ng'ekibonerezo kye mpadde Yerusaalemi kisaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye walibaawo abatonotono abaliwonawo, bo n'abaana baabwe. Abo bwe balivaayo ne bajja gye muli, muliraba emize gyabwe n'ebibi bye bakola, ne mumanya ng'ekibonerezo kye mpadde Yerusaalemu kisaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeeko.