Ezekiel 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulikubagizibwa bwe muliraba amakubo gaabwe n'ebikolwa byabwe, kubanga mulimanya nti byonna bye ndiba nkoze mu ye, ndiba sibikoze watali nsonga, Omukama Katonda y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oliraba enneyisa yaabwe n'ebikolwa byabwe, olikakasa nga saabalanga bwereere okubatuusaako ebyo byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulikakasa nga nalina ensonga entuufu okukituusaako ebyo byonna bye nakola mu kyo.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga saabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.