Ezekiel 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, abasajja bano batadde ebifaananyi bya balubaale mu mitima gyabwe, ne beeteekera n'emiziziko emibi mu maaso gaabwe, mbaleke ddala banneebuzeeko?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka n’ebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, abasajja bano batadde ebifaananyi mu mitima gyabwe, ne bibaleetera okukola ebibi. Nnyinza ntya abo okubaleka babeeko kye bambuuza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, abasajja abo emitima gyabwe bagimalidde ku kusinza ebitali Nze Katonda, ne bibaleetera okukola ebibi. Nnyinza ntya okubaleka babeeko kye banneebuuzaako?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, abasajja bano batutte ebifaananyi byabwe mu mutima gwabwe, era batadde enkonge ey'obutali butuukirivu mu maaso gaabwe: nnyinza ntya abo okumbuuza n'akamu kokka?