Ezekiel 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno yogera gye bali obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Omuntu yenna mu nnyumba ya Yisirayeli addidde ekifaananyi kya lubaale n'akissa mu mutima gwe, ne yeeteera n'omuziziko mu maaso ge, ate n'ajja ew'omulanzi, nze Mukama mwene ŋŋenda okumweddiramu nga ngerera ku bifaananyi bya balubaale bo ebingi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bw’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, n’agenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yogera nabo obagambe nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri asinza ebifaananyi bye mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale yogera nabo, obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba nti: ‘Buli wa ggwanga lya Yisirayeli amalira omutima gwe mu kusinza ebitali Nze Katonda, ne yeereetera okukola ebibi, n'ajja okwebuuza ku mulanzi, Nze Mukama ndimuddamu mu ngeri esaanira obungi bw'ebyo ebitali Katonda bye yeemaliddeko,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale yogera nabo obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;