Ezekiel 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe ntyo ndyoke nkwate emitima gy'ennyumba ya Yisirayeli egyanneebengulako olw'ebifaananyi bya balubaale.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gy’ennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndyoke nneddize emitima gya b'ennyumba ya Isiraeri bonna abanneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndyoke neddize ab'eggwanga lya Yisirayeli bonna abaneggyeeko, ne beemalira ku ebyo ebitali Nze Katonda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndyoke nkwase ennyumba ya Isiraeri omutima gwabwe bo, kubanga bonna banneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.