Ezekiel 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu yenna mu nnyumba ya Yisirayeli, oba omugwira, anneebengulako n'assa mu mutima gwe ebifaananyi bya balubaale, ne yeeteera omuziziko mu maaso ge, ate n'ajja eri omulanzi okunneebuuzaako, nze Mukama mwene ndimweddiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ow'okubannamawanga ababeera mu Isiraeri anvaako, n'asinza ebifaananyi mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama nze ndimuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga buli Muyisirayeli oba ow'eggwanga eddala abeera mu Yisirayeli, anneggyako n'amalira omutima gwe ku bitali Nze Katonda, ne yeereetera okukola ebibi, n'ajja eri omulanzi okunneebuuzaako, Nze Mukama ndimuddamu Nze nzennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muntu ow'omu nayumba ya Isiraeri oba ow'okubannaggwanga ababeera mu Isiraeri eyeeyawula nange n'atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama ndimuddamu nze mwene: