Ezekiel 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndimukanulira amaaso gange ne mmufuula ekyokulabirako n'eky'okwogerako. Ndimukutula ku bantu bange; olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu oyo ndimukyukira ne mmufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimukyukira ne mmufuula akabonero ak'okulabirako, era olugero. Ndimuggyawo mu bantu bange, mulyoke mutegeere nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikakasa amaaso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.