Ezekiel 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kulivaako omuti omukolebwa akantu? Bagukolamu enkondo okuwanikako ekintu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bayinza okuguggyako emiti okukolamu ekintu kyonna? Oba abantu bayinza okuguggyangako enkondo okuwanikako ekintu kyonna?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzabbibu bayinza okuguggyako emiti ne babaako kye bagibajjamu? Oba bayinza okuggyako wadde enkondo okubaako kye bagiwanikako?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna?