Ezekiel 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe gumala okusuulibwa mu muliro, omuliro ne gwokya obusanso bwombi, n'eky'omu makkati ne gukisiriiza, olwo gulibaako ne kye gugasa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n'eruuyi ne wakati nga gusiriide, oba olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bayinza kugukumisa bukumisa muliro. Era bwe gumala okwokebwa gye gusemba erudda n'erudda, era nga ne wakati guyidde, olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw'omulimu gwonna?