Ezekiel 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba tegugasa nga gukyali mulambirira, kati nga guyidde, gusiridde, lwe gunaabaako omugaso?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwaliko kye gugasa, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne gusiriira, olwo lwe gunaaba n'omugaso?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga tegwaliko kye gugasa nga gukyali mulamba, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne guggya, lwe gunaaba n'omugaso?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna?