Ezekiel 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nga bwe nawa omuti gw'omuzabbibu mu miti gy'ekibira gukole ng'oluku mu muliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abasula mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Nga bwe mpaayo omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, okuba enku okwokebwa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Nga bwe mpaayo omuzabbibu oguggyibwa mu miti egy'omu kibira okukumisa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abantu ababeera mu Yerusaalemu, ne mbabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ng'omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.