Ezekiel 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gange nzija kugabakanulira. Bavudde mu muliro, naye omuliro gujja kubasenkenya nate. Mulimanya nti nze Mukama, bwe ndibakanulira amaaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, okufuluma mu muliro, era omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe balidduka omuliro, era gulibookya. Bwe ndibabonereza, kale mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera.