Ezekiel 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'otonebwatonebwa ne zaabu ne ffeeza; engoye zo nga za bafuta, eza kitaani, eza siliki n'eza langi entobeke. Walyanga butta obulungi, omubisi gw'enjuki n'omuzigo gw'oliva. Wafuuka mubalagavu nnyo nnyo n'osaanira obwannaabakyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otyo bwe wayonjebwa n'ebya zaabu n'ebya ffeeza; n'oyambazibwa ebyambalo bya bafuta ennungi ne liiri ebya kolebwa obulungi; walyanga emmere ey'obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta. Walungiwa n'okamala n'oba nga muka kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wamala okuweebwa ebikuwoomesa ebya zaabu ne ffeeza, n'ebyambalo byo eby'engoye ezisingirayo ddala obulungi, n'olyanga emmere esinga obulungi, okuli n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo ogw'emizayiti, leero n'olungiwa n'okamala, n'onyirira nga muka kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wayonjebwa bw'otyo n'ezaabu n'effeeza; n'ebyambalo byo byali bya bafuta nnungi ne aliiri n'omulimu ogw'eddalizi; walyanga obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta: n'oba mulungi nnyo nnyini, n'olaba omukisa okutuusa mu bukulu obw'obwakabaka.